Palamenti ya Cameroon olunaku lweggulo yakoze ennongosereza mu Ssemateeka okuwa Pulezidenti Paul Biya 93, ebbeetu okwerondera anamuddira mu bigere
🗳️ Palamenti ya Cameroon olunaku lweggulo yakoze ennongosereza mu Ssemateeka okuwa Pulezidenti Paul Biya 93, ebbeetu okwerondera anamuddira mu bigere singa ava mu bulamu bw’Ensi, alekulira oba awunga oluvannyuma lwa Palamenti okuyisa ennongosereza mu Ssemateeka ku lwomukaaga okuzzaawo ekifo ky’Omumyuuka wa Pulezidenti.
Ababaka ba Palamenti 200 balonze ennongosereza eno ekolebwe, 18 nebawakanya, 44 tebalonze.
Ebbago lino liwa Omumyuuka wa Pulezidenti omukisa okufuuka Pulezidenti singa Biya afa, alekulira oba awunga.
Biya akulembedde Cameroon okuva mu mwaka gwa 1982, okukubaganya ebirowoozo ku bulamu bwe kwawerebwa.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

