Owa NRM awangudde mu Sheema North
Munnakibiina kya NRM Ms Naome Kibaaju, alangiriddwa ng’omuwanguzi w’akalulu akokujjuza ekifo ky’omubaka wa Sheema North. Ono awangudde n’obululu 11,326 ate ye Munnakibiina kya FDC eyawangulwa mu kamyufu ka NRM nasala eddiiro era nga yaliko ne RDC Guma Nuwagaba nafuna obululu 7,322.

