Omuyimbi Ronald Mayinja avuddeyo nalumiriza Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine okutunda Kkaadi ye eya
🎵 Omuyimbi Ronald Mayinja avuddeyo nalumiriza Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine okutunda Kkaadi ye eya Gomba East mu Kalulu ka 2021 gyeyali ayagala okwesimbawo. Mayinja agamba nti batuula ku Sheraton ye n’abantu abalala 5 okwali ne Bobi Wine namuwa amagezi obutesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2021 nti wabula yesimbewo ku bwa Loodi Mmeeya wa Kampala akozese omukisa guno okufuna ettutumu nga asigadde ayimba mu bitundu by’Eggwanga ebyenjawulo nga bagenda bamutegeera n’oluvannyuma mu 2026 alyooke yesimbe ku bwa Pulezidenti.
Mayinja agamba nti wabula kino abaali ne Bobi Wine bakiraba nga amuzalaye era amagezi ge tebagatwala!
Mayinja akikkaatiriza nti Kkaadi za NUP mu 2021 zatundibwa okusobola okufuna ssente ezaali zigenda okunoonya akalulu ka Pulezidenti wamu n’okukubisa ebipande nga neyiye eyaweebwa Godfrey Ssaazi eyangula okukiirira Gomba East mweyagendera.
Mayinja era alumiriza Omubaka wa Butambala era omumyuuka w’omukulembeze wa NUP owa Massekkati Hon. Muhammad Muwa

