Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 176 listening Simba FM Live
News

Akatambi kemutambuza kakadde abo twabakwata – Luke Owoyesigyire

June 6, 2024 · Mubiru Ali
Omumyuuka wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza Bannayuganda nti akatambi akatambula ku mutimbagano akakwatibwa kkamera enketta bikolwa kakadde. Ono agamba nti akatambi kano ka 2022 nga obubbi buno bwakolebwa ku masaŋŋanzira ga Buganda Road okuliraana City Oil ku Bombo Road. Luke agamba nti ekibinja ky’abavubuka kyalumba Engineer eyalina obukadde 30 mu nsawo nebagezaako okuzibba.
Ayongerako nti Poliisi yakwata abenyigira mu bubbi buno okuli; Abdullamani Bakata aka Pancho, Emmanuel Nsubuga, Augustine Wanandya, ne Ivan Muwanda. Nti era bano benyigira mu bubbi obulala bwebakubira omukungu w’Ekitebe kya Ethiopia Dawit Kasa. Ono bamubbako obukadde 2 mu emitwalo 50 nga February 25, 2022, ku Prince Charles Avenue in Kololo.
Poliisi ngekolera wamu ne Flying Squad bakola ebikwekweto nebakwata abavubuka bano abasangibwa ne piki piki, amasimu 20, ATM cards, n’ebiwandiiko by’abantu bebabbanga. Mukikwekweto kyekimu omu ku bano amanyiddwa nga Alipanda yattibwa nga abalala bali ku alimanda mu kkomera e Luzira.
Luke akubirizza Bannayuganda okusigala nga bakakkamu.