Omulenzi wa myaka 14 agudde mu mugga n’afiiramu – Butalejja
Omulenzi wa myaka 14 agudde mu mugga Namataaala mu buvanjuba bwa Yuganda n’afiiramu nga ne muganda we gweyagenze naye tasobodde kumuyamba .
Omwogezi wa Police mu kitundu by’e Bukedi, Â Kamuliya Soali agamba nti bano bombi babadde bawuga naye nga bagenze n’okuvuba nga afudde ye Mwima Jackson abadde mutuuze ku kyalo Kayiti mu ggombolola y’e Mawiyo mu Disitulikiti y’e Butalejja . Kitalo ekyo.

