Omulamuzi wa Kkooti Enkulu e Masaka Victoria Nakintu Katamba awadde ensala ye ku kuziikibwa kwomusuubuzi we Masaka Bosco Ssenyonjo Bitanda.
🗳️ Omulamuzi wa Kkooti Enkulu e Masaka Victoria Nakintu Katamba awadde ensala ye ku kuziikibwa kwomusuubuzi w’e Masaka Bosco Ssenyonjo Bitanda. Namwandu w’omugenzi Bosco amanyiddwa nga Jane Nabukeera amukirizza aziike abaana be Sherina Nankindu ne Simon Trevor Sennyonjo e Mukungwe enkeera waalwo nga Kitaabwe amaze okuziikibwa ate Nnazaala Maria Norah Nakayiza aziike mutabani we John Bosco Ssenyonjo Bitanda e Kyalusowe.
Omulamuzi era alagidde omugenzi okuggyibwako endaga butonde okwewala abayinza okuleeta bamulekwa ng’okuziika kuwedde.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

