Omukulembeze wEgwanga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akakasiza nga…
Omukulembeze w’Egwanga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akakasiza nga ssente ezeetagisa okukola oluguudo lwa Iganga – Bulopa – Kamuli mu bendobendo ly’e Busoga bwezaamaze dda okufunibwa nga enteekateeka y’okulukola egenda kutandika.
Oluguudo luno luweza kilomita 56 lugenda kukolebwa kkampuni ya Arab Contractors okuva e Misiri nga lugenda kuwementa obukadde bwa ddoola za America 70.
Kati olwaleero nga asinziira mu lukungaana lwokunoonya akalulu lwakubye ku kisaawe kya Disitulikiti y’e Iganga, Museveni agambye ssente zino zaamaze okufunika era omulimu gugenda kutandika.
Museveni agaseeko nga n’enguudo endala okuli; Jinja–Budondo–Mbulamuti–Kamuli kwosa Kamuli–Kaliro–Namwiwa–Pallisa road zonna wezigenda okukolebwa mu kisanja ekijja.
Bya Barbara Nabukenya
#ffemmwemmweffe

