Omukulembeze wEggwanga Yoweri Kaguta Museveni alabudde abamu ku…
Omukulembeze w’Eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alabudde abamu ku boludda oluvuganya abalina enteekateeka y’okutabangula emirembe nga bwebagenda okukolebwako kuba buli kyebakola ebitongole byebyokwerinda babimanyi bulungi era bagenda kukolebwako essaawa yonna.
Museveni okulabula kuno yakukoze asinziira mu makaage e Rwakitula bweyabadde asisikanye abakulembeze ba National Resistance Movement – NRM oluvanyuma lwokuddamu okuwangula ekisanja ekirala kya myaka 5.
Museveni agambye waliwo abakulembeze abaawanguddwa okuli ne Muwanga Kivumbi owe Butambala abagezaako okutegeka abebijambiya okugajambula abantu era n’abalabula bakikomye kuba omukono gwamateeka omuwanvu gugenda kubakwatako.
Bya Barbara Nabukenya
#ffemmwemmweffe


