Omukolo gwokuwerekera omugenzi Annet Mauricia Namukasa, mwannyina Katikkiro…
Omukolo gw’okuwerekera omugenzi Annet Mauricia Namukasa, mwannyina Katikkiro Charles Peter Mayiga, gutandise n’ekitambiro kye mmisa ekikulembeddwa omusumba we Masaka Serverus Jjumba.
Baminisita ba Kabineeti ya Kabaka, ba ssenkulu b’ebitongole by’obwakabaka, Abaami ba Kabaka ku buli mutendera, abakulembeze ne bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo, bazze okukuba eriiso evvanynyuma ku Annet Namukasa.
Okuziika kuli Kabonera e Buddu.
#ffemmwemmweffe

