BREAKING NEWS
MBU: Modern day artists have no excuse to struggle, according to Jamal Wasswa MBU: Why Sasha Brighton left TV for a music career Red Pepper: HERBAL HEALING CRY! Old People Demand Gov’t Back Traditional Medicine as Modern Drugs “Fail” East News: Kataka FC Complete League Derby Double Over Mbale Heroes at Mbale Stadium East News: Constitutional Court Nullifies Key Provisions of Computer Misuse Law Pulse Uganda: Roots & Vibes 2026: Tickets out for Uganda’s premier cultural experience Red Pepper: Dr.Kezaabu’s Porn Committee Grounded as Cash Dries Up Observer: Gov’t seeks parliamentary approval for Shs 6 trillion already spent last year Observer: M23 rebels: Entebbe mayor Rwalinda loses Shs 273m case against Stanbic bank Pulse Uganda: Expert shows why Bobi Wine fleeing to exile improves his chances at presidency

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Omukago gw’amawanga ga Bulaaya guwadde Yuganda obukadde 151 eza Bulaaya

Omukago gw’amawanga ga Bulaaya guliko obuyambi bwa Ssente za Bulaaya obukadde obukunukkiriza mu 151, bweguwaddeyo eri Gavumenti ya kuno okulabirira n’okukulaakulanya abantu b’omumambuka ga Yuganda.

Ensimbi zino zaakukwasizaako mu kulwanyisa obwavu mu bantu abawangaalira mu bitundu bino, okubafunira amazzi amayonjo n’okubasimira ebidiba by’amazzi ne nayikondo kwebasobola okufunira amazzi ag’okufukirira ebirime n’okunywesa ebisolo byabwe, ebyobulamu, ebyendiisa eyomulembe n’ensonga endala nga Pulojekiti eno yaakutambula okutuusa mu mwaka gwa 2023.

Bw’abadde ayogerera mu lukungaana lw’abakugu abagenda okulondoola n’okuvujjirira ensimbi zino ku yaafesi ya Ssaabaminisita mu Kampala, Omubaka w’omukago gwa Bulaaya mu Yuganda, Attilio Pacifici, agambye nti basazeewo okusoosowaza ekitundu kino kubanga kibaddemu ebizibu bingi omuli entalo, omujjuzo gwabanoonyi b’obubudamu, obwavu n’ensonga endala nnyingi.

Ebiwandiiko biraga nti abantu ebitundu 32.5% abawangaalira mu Mambuka ga Yuganda babeera mu bwavu obutagambika nga omuwendo guno gusinga ogw’abaavu mu Yuganda yonna oguli ku bitundu 21.2%.

Ssaabaminisita wa Yuganda, Dr Ruhakana Rugunda, agambye nti obuyambi buno bujjidde mu kiseera nga Yuganda ekyali mu katu k’okukulaakulanya abantu b’omumambuka, nga n’embeera gyebayitamu ekyayongera okweraliikiriza.

Dr Rugunda agambye nti ekifo ky’omumambuka ssinga kiterezebwa n’okubukalamu emirembe Yuganda yaakutuuka ku birooto by’enkulaakulana eby’ekyasa, wabula n’asima obuyambi okuva mu mukago gwa Bulaaya.

Mungeri y’emu Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’abantu b’omumambuka ga Yuganda, Grace Kwiyucwinyi, alabudde abakulembeze ba Gavumenti z’ebintudu abagenda okukwasibwa obuvunaanyizibwa okutambuza Pulojekiti nga bwezigerekeddwa mu nteekateeka y’ensimbi zino .

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply