Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 787 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Bannabyabufuzi baagala tubuulire byebaagala okuwulira – Ssaabalabirizi Ntagali

January 1, 2018 · Mubiru Ali

Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Yuganda, His Grace Stanely Ntagali agamba nti tagenda kutiitiira olw'okutiisibwatiibwa bannabyabufuzi nti ye waakugenda mu maaso n'okubunyisa engiri ya Katonda nga bwekyetaagisa. 

Ntagali ayongerako nti beetaga n'okusabira Bannabyabufuzi okwenenya awamu n'okutya Katonda ate n'okumussa ku mwanjo nga bakola emirimu gyabwe. 

" Baagala tubuulire byebaagala okuwulira,  naye njagala okutegeeza ababuulizi b'enjiri mwenna nti tubuulire enjiri etaliimu kwekkiriranya era tusabire ne Bannabyabufuzi beenenye,  batye Katonda,  baweereze Bannayuganda mu bwerufu". Ssaabalabirizi Stanley  Ntagali.