Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 256 listening Simba FM Live

Poliisi etandise okunoonyereza ku masasi agakubiddwa e Kamwokya

August 31, 2020 · Mubiru Ali
Uganda Police Force mu Kampala Metropolitan Police evuddeyo netegeeza nti etandise okunoonyereza ku mbeera eyabaddewo abantu ababadde bakakatanye n’emmundu nga babadde batambulira mu Motoka ekika kya Super Custom nnamba UBE 229E bakubye amasasi e Kamwokya mu Central Division mu Kampala.
Kigambibwa nti Orema Charles aka Sipapa yeyabadde avuga emotoka eno ku ssaawa nga munaana n’eddakiika ataano.
Okusinziira ku babadde bagamba nti ono yagezezaako okupakinga okumpi newa Fred Nyanzi, wabula abavubuka nebabalumba n’ebaasa side mirror ekyaleetedde ababadde n’emmundu okukuba amasasi asatu mu bbanga.
Mpaawo muntu yafudde era Poliisi egamba yatuuse mu kifo kino nekola okunoonyereza okugenda okugiyamba okumanya ani nannyini mmundu eyakozeseddwa
SP Patrick Onyango
PRO KMP