Omubaka wa Butambala era Omumyuuka wa Pulezidenti wa National Unity Platform Muhammad Muwanga Kivumbi nabalala bakomezeddwawo mu Kkooti
🗳️ Omubaka wa Butambala era Omumyuuka wa Pulezidenti wa National Unity Platform Muhammad Muwanga Kivumbi n’abalala bakomezeddwawo mu Kkooti y’Omulamuzi we Butambala Deogratias Ssejjemba gyebuvuddeko eyalagira ekitongole ky’amakomera okukakasa emyaka gyabamu ku bavunaanibwa okuli Muhinda Wilson ne Mawanda Paul.
Mu lutuula lwa Kkooti olwaleero kikakasiddwa okusinziira ku biwandiiko by’eddwaliro nti Muhinda Wilson is 18, ate ye Mawanda Paul azuuliddwa nti akyali muto.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

