97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Hon. Kasibante akolokose ekya Minisita Kamya okuyisa olugaayu mu biteeso bya KCCA

Omubaka mu Palamenti owa Lubaga ey'amambuka akolokose ekya Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala, Olive Betty Namisango Kamya okuyisanga olugaayu mu biteese ebiyisibwa olukiiko lwa KCCA  ate nga ebiteeso bino okuyita kitwala ssente z'omuwi w'omusolo.

Kasibante bw'abadde ayogerako ne Bannamawulire ku City Hall mu Kampala , ategeezezza nti kikyamu nnyo abakulembeze obutawa kitiibwa mirimu gya bitongole.

Omubaka era alabudde ba Kkansala ba KCCA abaagenda mu lusirika lwa NRM  e Kyankwanzi nti kiri mu nteekateeka za NRM okugulirira ba kkansala bano bakole ekyo NRM kyeyagala 

About Mubiru Ali

Leave a Reply