Olunaku olwaleero Kkooti yOmulamuzi e Masaka lwegenda okuwa ensala yaayo ku musango ogwatwalibwayo Nnamwandu wOmugenzi Ssenyonjo Bitanda
🗳️ Olunaku olwaleero Kkooti y’Omulamuzi e Masaka lwegenda okuwa ensala yaayo ku musango ogwatwalibwayo Nnamwandu w’Omugenzi Ssenyonjo Bitanda ngawakanya ekya Maama ne Baganda b’omugenzi okwogala okumuziika ku kiggya ky’Ekika ng’agamba nti obwannanyini ku ttaka lino butankanibwa. Kkooti ensala yaayo yakugiyisa mu email.
Bosco Ssenyonjo aka Bitanda yafiira mu kabenje n’abaana be 2 okuli: Nankindu Sherina ne Simon Ssenyojo Trevor ku kuguudo lwe Ntebe.
Namwandu ayagala baziikibwe mu maka gebabadde bazimba e Kaddugala so nga Ab’Ekika ne Maama w’Omugenzi baagala baziikibwe e Kyalusowe.
Kino kikuwa kyakuyiga ki?
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

