BREAKING NEWS
East News: Constitutional Court Nullifies Key Provisions of Computer Misuse Law MBU: Constitutional Court declares Computer Misuse Act null and void East News: Entebbe Mayor Faces Impeachment over Links of Illegal Gold Dealing with M23 Rebels Pulse Uganda: Dating reality show Hello Mr. Right launches third season Pulse Uganda: Why building a career matters more than just having a job MBU: Protected: Zuri Ride: Redefining Personal Transportation – Royal Jeff Ventures Into Taxi Business Red Pepper: Dr.Kezaabu’s Porn Committee Grounded as Cash Dries Up Observer: Gov’t seeks parliamentary approval for Shs 6 trillion already spent last year Red Pepper: WOMB WAR IN MBARARA! Experts Sound Alarm Over Hike in Deaths Among Young Women Due to Unsafe Abortion Observer: M23 rebels: Entebbe mayor Rulinda loses Shs 273m case against Stanbic bank

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Olunaku lwa Valentine ssirwakwegadangirako – Ffaaza Lokodo

Nga ensi yonna olwaleero  eri mu kujaganya olunaku lwa Valentine era nga bangi balaga bannaabwe omukwano , Ye Minisita avunaanyizibwa ku by’okukwasisa empisa wamu n’enkola y’ebintu ey’ekintu kiramu wano mu ggwanga, Dr. Fr . Simon Lokodo agamba nti ebyembi wano mu Yuganda abantu olunaku luno baalufuula lwa kwegadangirako na kwerigomba, n’agamba nti kino kaakati abantu abasinga obungi kyebayaayaanira so nga ate ssi gwe  mulamwa gw’olunaku luno  omukulu.

Faaza Lokodo abadde abuulirako bannamawulire, n’agamba nti omulamwa gw’olunaku luno, be bantu okulaga okwagala kwabwe naye ate eri bannayuganda , olunaku luno baalufuula lwa kukabawaza bantu ,buseegu n’ebirala ebigwa mu kkoowe eryo n’agamba nti ssi gwemulamwa omukulu. 

Bino abyogeredde mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku Media centre mu Kampala .

Faaza Lokodo era olunaku olwaleero otongozza eby’olunaku olw’okujjukira okuttibwa kwa eyali Ssaabalabirizi wa Uganda Janani Luwum nga era nabyo bibadde mu kifo kyekimu nga emikolo gy’olunaku luno gigenda kubaayo lunaku Lwakuna nga 16, Mukutulansanja e Michuni mu Disitulikiti y’e Kitgum.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply