Norbert Mao gulokoka vva mu kuloota – Omumyuuka wa Sipiika Tayebwa
Norbert Mao gulokoka vva mu kuloota – Omumyuuka wa Sipiika Tayebwa
Amyuuka Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa bwebadde mu kuziika kwa Maama wa Minisita owaguno naguli mu Minisitule y’ebyobulamu Hanifah Kawooya, ategeezezza nga bwebatasobola kuwa bifo byankizo okuli ekya Sipiika n’omumyukawe, aboludda oluvuganya nga ababyegwanyiiza tebasoose kubeegattako. Bino Tayebwa abisimbulizza ku bigambo bya Nobert Mao akulira ekibiina ki DP bye yayogedde ku lwokubiri lwa wiiki eno nga bwe yegwanyiza okuvuganya ku kifo kino. Tayebwa, amusabye obuteyambisa nkolagana eriwo wakati wa DP ne National Resistance Movement – NRM kulowooza nti anaweebwa omukisa guno.
#ffemmwemmweffe

