Nga tuteesa ku ki kyetutakola?! – Hon. Ssegiriinya
Hon. Muhammad Ssegiriinya agamba nti yagendera ku bigambo bya Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine eyabakuutira okubeera ab’enjawulo mu Babaka abalala nga bayamba abalala abali mubwetaavu.
Ono agamba nti balina ebibuuzo bingi lwaki bakwatibwa era nakakasa nti okuteebwa kwabwe kwali mu mateeka mpaawo yabateeseza yadde bbo okuteesa n’omuntu omulala yenna.

