Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Wolokoso ▶ UP NEXT Gasimbagane 10:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 1,998 listening Simba FM Live
wolokoso show photo

On Air

Wolokoso

Sula Nsiri - Kalebule

9:00 AM - 10:00 AM 9:00 AM - 10:00 AM

Kkooti esalidde Kamyuka okusibwa emyaka 5

June 15, 2018 · Mubiru Ali

Kkooti enkulu mu Kampala esingisizza Ivan Kamyuka omusango gw’okutta munne John Ahimbisibwe oluvannyuma lw’okukaayanira omukazi mu Club Guvnor ekifo ekisanyukirwamu mu Kampala.

Omulamuzi Wilson Kwesiga yejjeerezza Kamyuka omusango gw’obutemu n’amusingisa ogw’okutta omuntu mu butanwa nga yesigama ku bujulizi bw’oluyi oluwaabi obualga nti eyattibwa ye yasooka okulumba Kamyuka ate n’okusosonkereza muganzi we Nima Nyarwaka gwe baakaayanira.

Bwatyo omulamuzi amusalidde emyaka 5 wabula namukenderezaako omwaka gumu n’emyezi ena gyamaze ku alimanda. Bwatyo kati wakusibwa emkya 3 n’emyezi 8.