97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

NFA yeerayiridde okununula ekibira Bugoma

Ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forestry Authority  kyerayiridde okununula ekibira ekya Bugoma ekisangibwa mu Hoima Obukama bwa Bunyoyoro kyebwagala okwekomya .

Ekitongole kino kyatwala Obukama bwa Bunyoro wamu n’akakiiko k’ebyettaka aka Uganda Land Commission  mu kkooti enkulu e Masindi  nga kyagala eyise ekiragiro ekigaana bano okusaalimbira ku ttaka ly’ekibira kino wabula Kkooti n’egaana okusaba kuno .

Ng’ayogerako ne bannamawulire , Kisakye akulira bannamateka mu Kitongole kino agamba nti  wadde kkooti yasalawo bw’eti naye tebannapondooka ku nsonga eno .

Kisaakye era asambazze ebyogerwa Katikkiro w’obukama bwa Bunyoro Lukumu Norman nti okutwala Omukama mu kkooti kwali kumulengezza  .

 

About Mubiru Ali

Leave a Reply