97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Naffe tujja kubalemesa okuyingira mu Acholi – Hon. Akol

Waliwo ekibinja ky’ababaka ba Palamenti okuva mu kitundu ky’e Acholi abalumiriza ekibiina kya National Unity Platform – NUP okubeera emabega w’okwekalakaasa okuli mu Amerika nga bawakanya okutwalibwa kwa Sipiika Jacob Oulanyah okujanjabwa.
Bano nga bakulembeddwamu Ssentebe waabwe Anthony Akol Munnakibiina kya Forum for Democratic Change baagala akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba aveeyo abetondere naye bwatakikola besomye okulemesa abakulembeze ba NUP okugenda mu Acholi sub-region.

Leave a Reply