97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Naalinya w’amasiro g’e Kasubi awadde nsaleesale ku Muzibwazaalampanga.

Naalinya w’amasiro g’e Kasubi Beatrice Namikka awadde nsaleesale wa nnaku 5 zokka abazimba n’okuzzaawo amasiro ga ba Ssekabaka e Kasubi nga batadde akasolya ku Muzibwazaalampanga. Eno y’ennyumba enkulu omwagalamizibwa enjole za ba Ssekabaka bana nga yakwata omuliro mu mwaka gwa 2010 .

Naalinya ekiragiro akiyisizza leero e Kasubi ku mukolo Katikkiro Charles Peter Mayega waalambuliza obuganda omulimu guno wegutuuse. Naalinya agamba nti kino bwekirema okukolwa mu bbanga ly’abawadde  waakukunga abaganda bo beeteereko akasolya.

About Mubiru Ali

Leave a Reply