97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Musanvu balumiziddwa mu kabenje e Kagadi

Abantu musanvu bafunye ebisago ebyamaanyi mu kabenje akagudde e Kagadi okuliraana Paacwa TC ku luguudo lwe Kagadi – Hoima Taxi nnamba UAS 779Y bwetomereganye ne Toyota Carina nnamba UAJ 432G.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Albertine Mr Julius Hakiza agambye nti abalumiziddwa baddusiddwa mu ddwaliiro e Pacwa ne Kagadi.

Abalumiziddwa kuliko Murungi Teddy, Mugisha Julius, Asaba John, Ssenyonga Patrick, Murungi Gerald, Akankwasa precious ne Kasungwa Gerald.

Kigambibwa nti akabenje kano kavudde kukuvugisa kimama.

About Mubiru Ali

Leave a Reply