mu maggye tetukiriza mpisa nsiiwufu – jeje Odongo
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu ggwanga General Haji Abubaker Jeje Odongo yavuddeyo mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga nayogera ku nsonga ya Maj. Gen. Matayo Kyaligonza wamu n’abakuumi be okukuba Namaganda.
Odongo yagambye nti abasirikale ba UPDF ababiri okuli CPL Bushindiki ne Pte Okurut John Robert bakwatiddwa nga kati bakuumirwa ku kitebe kya Makindye Military Police nga era bakusimbibwa mu maaso ga Kkooti y’amaggye.
Odongo era yagambye nti HE Ambassador Maj Gen Matayo Kyaligonza, yayitiddwa Poliisi akole sitaatimenti gyebagenda okweyambisa mu musango ogunaaba gumuvunaaniddwa.
Era ono yategeezezza nti ekikolwa kino bakivumirira nnyo era nti ekikolwa kyonna ekitali kyampisa ekikolebwa munnamaggye kivumirirwa era nga yenna akwatibwa avunaanibwa.

