Minisita wEbyamasanyalaze nokulaakulanya obugagga obwensibo Ruth Nankabirwa avuddeyo nategeeza nga Uganda bwerina amafuta mu materekero aga
🎵 Minisita w’Ebyamasanyalaze n’okulaakulanya obugagga obwensibo Ruth Nankabirwa avuddeyo nategeeza nga Uganda bwerina amafuta mu materekero: aga Diesel agasobola okutambuza Eggwanga okumala enaku 21, aga Petrol enaku 26 naago agakozesebwa mu nnyonyi ga naku 40. Yongeddeko nti Gavumenti ekoze enteekateeka zokwongera ku bungi bw’amafuta agali mu materekero nga waliwo nagali mu kkubo okuva e Hormuz.
Nankabirwa agamba nti kkampuni ezitunda amafuta mu Ggwanga tezirina nsonga yasimba ezireetera kupaaza bbeeyi y’amafuta kuba tewanabaawo bbula ly’amafuta mu Ggwanga kuba bakyagufuna mu ngeri yemu nga bwebabadde bagafuna. Nankabirwa agamba nti batandise okulondoola okulaba amakampuni ago agayinza okukozesa akakisa kano okunyaga Bannayuganda.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

