BREAKING NEWS
Observer: Minister Anite urges boda boda riders to save for the future Observer: Woman arrested with over 100kgs of marijuana in Arua Pulse Uganda: Who is Lina Zedriga, the woman chosen to lead NUP in Bobi Wine’s absence? East News: KAMPALA: Two Women Arrested For Impersonating Landowner to Process Loan East News: Namisindwa Parish Chiefs Protest Shs179M Allowance Delay Pulse Uganda: World Oral Health Day: Unilever campaign targets school children in Kampala, Wakiso MBU: Unilever Uganda, Pepsodent Oral Health campaign targets 100,000 pupils in Central Uganda MBU: Smirnoff Fiesta, Etania bring unforgettable energy to Bbosa Hostel courtyard in Nkozi

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Male Mabiriizi ayagala abaali ku mukolo gwa Bugingo ne Makula

Munnamateeka Male Mabiriizi avuddeyo nasaba ekiwandiiko ki bakuntumye eri Pastor Aloysious Bugingo wamu ne Mukyala we gweyakanjula Suzan Makula Nantaba.

Mabiriizi mu kusaba kwe kweyawaddeyo mu Kkooti y’e Entebe era ayagala n’abantu abalala 10 abaali ku mukolo bakwatibwa olwokubeera ku mukolo gwagamba nti gwali gumenya mateeka era nga singa omusango gusinga Bujingo abeera ayolekedde okusibwa emyaka 5.

Abantu 10 Mabiirizi bayagala bakwatibwe kuliko; Prof.  Pastor Simeon Kayiwa, Frank Gashumba, Charles James Ssenkubuge, Paul Kato Lubwama, Simon Peter Kaswabuli, John V Sserwaniko, Dickson Mubiru, Isaac Daniel Katende, Nancy Kabahumuza ne Susan Nalwoga.

Mabiriizi era mu kirayiro kye ayagala abantu abalala 7 balabikeko mu Kkooti nga 21-January-2022 ngabajulizi abaliiwo ku mukolo guno. Bano kuliko omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule y’ekikula ky’abantu Aggrey Kibenge, Executive Director wa Uganda Communications Commission Irene Kaggwa Sewankambo, Director wa Makerere Institute for Social Research, Kabaka wa Buganda oba Bannamateeka be, Registrar General wa Uganda Registration Services Bureau ne Ibra K Mukasa. Mabiriizi agamba nti abamu ku bantu bano baliwo ku mukolo era ayagala bakwatibwe.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply