97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Kooti eragidde Namwandu wa Kasiwukira yeewozeeko .

Kooti enkulu mu Kampala eragidde Sarah Nabikolo nga ono ye Namwandu w’omugenzi Eria Ssebunya Bugembe eyali amanyiddwa nga Kasiwukira okwewozaako ku misango egimuvunaanibwa egy’okutta bba . 

Omulamuzi Wilson Masalu Musene enkya ya leero awadde ekiragiro kino oluvannyuma lw’okwekenneenya obujulizi obuleeteddwa nga bulaga nti Nabikolo yeekobaana ne muganda we Sandra Nakungu n’omuserikale wa Police y’e Muyenga Jayden Ashraf okutta Kasiwukira .

Omulamuzi agamba nti okusinziira ku bujulizi obuliwo , Nabikolo wamu ne  banne baavunaanibwa nabo, balina okunnyonnyola engeri Kasiwukira gyeyatomerwamu ku makya ga 17  Mukulukusabitungitungo, 2014  bweyali akola dduyiro okuliraana amakage agasangibwa e Muyenga ku njegooyego za Kampala .

Okuwa ekiragiro kino , Omulamuzi Masalu Mesene asinzidde ku kya Nabikolo okuba nga yalina obutakkaanya wakati we ne bba omugenzi, ate nga n’emmotoka eyamutomera yali ya muganda wa Nabikolo, Sandra Nakungu omuserikale gyeyali avuga kw’olwo .

Bw’atyo omulamuzi alagidde abavunaanibwa beewozeeko nga 15, Mutunda 2016.

 

About Mubiru Ali

Leave a Reply