Kooti enkulu mu Kampala eragidde Sarah Nabikolo nga ono ye Namwandu w’omugenzi Eria Ssebunya Bugembe eyali amanyiddwa nga Kasiwukira okwewozaako ku misango egimuvunaanibwa egy’okutta bba .
Omulamuzi Wilson Masalu Musene enkya ya leero awadde ekiragiro kino oluvannyuma lw’okwekenneenya obujulizi obuleeteddwa nga bulaga nti Nabikolo yeekobaana ne muganda we Sandra Nakungu n’omuserikale wa Police y’e Muyenga Jayden Ashraf okutta Kasiwukira .
Omulamuzi agamba nti okusinziira ku bujulizi obuliwo , Nabikolo wamu ne banne baavunaanibwa nabo, balina okunnyonnyola engeri Kasiwukira gyeyatomerwamu ku makya ga 17 Mukulukusabitungitungo, 2014 bweyali akola dduyiro okuliraana amakage agasangibwa e Muyenga ku njegooyego za Kampala .
Okuwa ekiragiro kino , Omulamuzi Masalu Mesene asinzidde ku kya Nabikolo okuba nga yalina obutakkaanya wakati we ne bba omugenzi, ate nga n’emmotoka eyamutomera yali ya muganda wa Nabikolo, Sandra Nakungu omuserikale gyeyali avuga kw’olwo .
Bw’atyo omulamuzi alagidde abavunaanibwa beewozeeko nga 15, Mutunda 2016.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.