3 Abasumba b’abalokole ab’amannya balangiriddwa nga ab’obulimba

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abasumba abakuukuutivu abasoba mu 500 ab’enzikiriza y’ekirokole balangiridde abasumba basatu wano mu Kampala ab’amannya nga bwebali ab’obulimba era nga okukola kino basinzidde ku Kkanisa ya Christian Life Church e Makerere Kavule akawungeezi ka leero nga bayitamu bibiina byabwe bisatu mwebeegattira omuli; Born Again Faith federation (BAFFE), Born Again Christian Federation (BACF) ne National Fellowship of Born Again Pentecostal churches (NFBPC).

Abalangiriddwa nga ab’obulimba be; Nabbi Samuel Kakande akulira kkanisa ya The Synagogue Church of all Nations, Omusumba Yiga Augustine akulira Revival Christian Church e Kawaala Brother Ronie Makabai owa Evangelical Truth Ministries (ETMI).

Omusumba Jackson Senyonga akuliddemu ekikwekweto kino eky’okufuuza abasumba ne ba Nabbi ab’obulimba wonna mu ggwanga asabye Gavumenti eyingire mu nsonga zino era etandike okunoonyereza ku bantu bano abasatu.

Share.

Leave A Reply