Katikkiro Charles Peter Mayiga Omwana wEmbuga Diana Balizzamugale…
Katikkiro Charles Peter Mayiga: “Omwana w’Embuga Diana Balizzamugale Teyeggala tumuwerekedde leero mu Masiro e Kasubi.
Ku lwa Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka, ku lwange ne ku lwa Aboomumaka gange ntuusa okusaasira kwaffe eri Ab’olulyo Olulangira, omwana w’omumbejja n’abantu mwenna olw’okuviibwako munnaffe ono.
Obwakabaka buggumira bulungi, Abalangira n’Abambejja abakulu bwe bakwatagana n’abakulembeze mu Bwakabaka era nga balabika mu bantu, kubanga abantu basanyuka nnyo nga balaba ku b’Olulyo Olulangira, Omumbejja ono abadde abeera nnyo mu bantu ate yatuwanga nnyo ebirowoozo naddala ku bavubuka, kale tumusaaliddwa nnyo.”
Twakuumye bubi, gutusinze Ayi Ssaabasajja Kabaka.
#ffemmwemmweffe

