Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye omuyimbi Irene Ntale ne bba Vincent Kalibbala, ne bazadde baabwe bombi, bankyaliddeko mu Bulange e
🎵 Katikkiro Charles Peter Mayiga: “Nsisinkanye omuyimbi Irene Ntale ne bba Vincent Kalibbala, ne bazadde baabwe bombi, bankyaliddeko mu Bulange e Mmengo leero.
Tusanyuka nnyo bannabitone oba abantu abamanyifu bwe bettanira obufumbo, kubanga bafuuka kyakulabirako kirungi eri ababamanyi oba ababakiririzaamu nabo obutatya bufumbo, ne bafuna obuvumu okubuyingira.
Obufumbo y’entabiro y’omukwano, era bwe bukuuma omukwano mu ngeri ey’olubeerera, kyokka omukwano guwangaala na kuguliikiriza, abaagalana nga bassiŋŋamu ekitiibwa, nga bawagiragana, n’okuwuliziganya obulungi.
Tubaagaliza obufumbo obulungi buwangaale nga bulimu essanyu, bwagazise n’abalala obufumbo.”
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

