97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

katikkiro asisinkanye ababaka okuva e Norway, sweden, iceland ne denmark

Ababaka okuva mu nsi okuli; Norway, Iceland, Sweden, ne Denmark, bakyaliddeko Katikkiro neboogera ku nsonga z’okukulaakulanya abantu ba Buganda
Esonga ezireese ababaka e Mengo,
1). kwekumanya ebyafaayo by’obwakabaka wamu n’okubabuulira enteekateeka z’obwakabaka mu kukulaakulanya abantu.
Mu kwogera kwe, Katikkiro agambye nti tosobola kukulaakulanya bantu okujjako nga ofunye bannamikago naddala ensi nga zino ezirina eby’okuyigirwako mu kisaawe ky’eby’enjigiriza, eby’obulamu, eky’okwekulaakulanya.
2). Baagala okumanya enteekateeka z’obwakabaka eri abaana abawala okubatangira obutafuna mbuto nga tebanneetuuka, wamu n’ensonga ezikwata ku ttaka.
Ye omubaka wa Norway mu Uganda, Susan Eckey, asanyukidde enteekateeka ya Nnabagereka ey’okulwanirira abaana abawala obutafuna mbuto nga bakyali bato wamu n’okugunjula abavubuka okubeera n’obuntubulamu.
Ensisinkano eno yetabiddwamu, Minisita w’amawulire Abagenyi Era Omwogezi w’obwakabaka Noah Kiyimba, ne Owek Dr. Prosperous Nankindu, Minisita w’enkulaakulana, eby’enjigiriza, eby’obulamu wamu n’ensonga za office ya Nnabagereka.

About Mubiru Ali

Leave a Reply