Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 218 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

minisita akwatiddwa e kabalagala nga anywa shisha

January 7, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi mu Kampala yakoze ebikwekweto ku lw’omukaaga ne Ssande mweyakwatidde abantu 15 mu mabbaala ag’enjawulo nga bano yabasanze banywa Shisha. Poliisi yasanze akaseera akazibu okukwata abantu beyasanze mu Kampala Forest Bar e Muyenga, ate yo ku De Posh e Kabalagala Poliisi yakutte abawerako nga okusingira ddala babadde Bannansi ba Sudan mweyakwatidde ne Minisita avunaanyizibwa ku nkulaakulana y’ebyalo Doup Simon owa Gavuementi ya Sudan eya maserengeta.

Mukikwekweto kino Poliisi yabadde ekolera wamu n’ekitongole kya Uganda National Health Consumers Association ekiri wansi wa Minisitule y’Ebyobulamu mukussa mu nkola etteeka erivunaanyizibwa kukufuweeta taaba.