97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

gweyayamba okusuza amubbye ssente n’engoye

Omuwala Sylvia Nankya 19 eyajja okusaba mu kkanisa ya Life Christian Church eya Sssenyonga nga ono yava mu Disitulikiti y’e Kiryandongo akwatiddwa lwakubba mitwalo asatu okuva ku Faith Namutebi 23, abadde amusuza.

Kigambibwa nti Sylvia yajja kusaba kwa P5 wabula embeera y’okusula n’okulya nemukaluubirira bwatyo nasalawo omuzira kisa amuyambe amusuze olunaku lumu wabula ate namubba engoye ne ssente.

Faith nga mutuuze mu Ddobi Zooni yeyayamba Nankya okumusuza agamba nti ono yagenda anoonya omuntu ayinza okumuyamba okumusuza kyokka abantu abasinga ne bagaana nga bagamba nti abalokole abasabira ewa Ssenyonga abasinga balina empisa ensiwuufu ye kye yawakanya n’amuyamba n’afundikira ng’amubbye

 

About Mubiru Ali

Leave a Reply