Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 308 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Omulabirizi w’ekelesiya yaba Orthodox mu bulabirizi obupya obwe Jinja Silvester Kisitu atuuziddwa

February 27, 2022 · Mubiru Ali
Omulabirizi w’ekelesiya yaba Orthodox mu bulabirizi obupya obwe Jinja Silvester Kisitu atuuziddwa mu butongole.
Obwakabaka bukiikiriddwa Omumyuka ow’Okubiri owa Katikkiro era Minisita webyensimbi n’okuteekerateekera Obwakabaka Oweek Robert Waggwa Nsibirwa era yatuusizza obubaka bwa Katikkiro.
Mu bubaka bwe, Katikkiro agambye nti, “Sirina kubuusabuusa nti Paapa Theodorus II, akukwasizza obuvunaanyizibwa buno, akulabamu obusobozi nebisaanyizo ebikugwanyiza obuweereza buno, naffe bwetutyo tukulinamu essuubi ddene nnyo.
Ndowooza nti tojja kusomoozebwa mu kifo kino ekiggya kubanga wadde nga ggwe ova mu Buganda, era nga oli muzzukulu wa Walusimbi, Abasoga n’Abaganda balongo Wasswa ne Kato, era mu Uganda tewali mawanga gafaanana nga bwe miri ku Buganda n’Abasoga kumpi mu buli mbeera zonna.
Omuganda agamba nti entamu ewulira gusooka, era nkakasa nti tooleme kukola n’amaanyi naddala emirimu Kelesia yaba Orthodox gye yettanira ennyo ng’oggyeko okulyowa emyoyo eby’obulamu n’eby’enjigiriza wamu n’okuyigiriza abavubuka okweyimirizaawo”.