BREAKING NEWS
MBU: Modern day artists have no excuse to struggle, according to Jamal Wasswa MBU: Why Sasha Brighton left TV for a music career Red Pepper: HERBAL HEALING CRY! Old People Demand Gov’t Back Traditional Medicine as Modern Drugs “Fail” East News: Kataka FC Complete League Derby Double Over Mbale Heroes at Mbale Stadium East News: Constitutional Court Nullifies Key Provisions of Computer Misuse Law Pulse Uganda: Roots & Vibes 2026: Tickets out for Uganda’s premier cultural experience Red Pepper: Dr.Kezaabu’s Porn Committee Grounded as Cash Dries Up Observer: Gov’t seeks parliamentary approval for Shs 6 trillion already spent last year Observer: M23 rebels: Entebbe mayor Rwalinda loses Shs 273m case against Stanbic bank Pulse Uganda: Ugandan scientists build Africa’s first robot tour guide

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Gwebakukusa afiiridde e Jordan

Poliisi ye Katwe emaze okukola okunoonyereza era nekwata abantu babiri kubigambibwa nti bakukusa abantu oluvannyuma lw’omukazi ow’emyaka 31 eyakubwa naafa n’oluvannyuma omulambo ggwe negukomezebwawo mu Uganda okuva e Jordan.
Muhammed Musoke ne Timothy Wakhasa 30, bebakwatiddwa Poliisi nga bwekyakola okunoonyereza ku musango ogwawabwa Moses Nyakana eyali bba wa Juliet Nakiyimba.
Nyakana omutuuze wo mu Kigagga Zone, Makindye yannyonyodde nti omugenzi yava ewuwe nga agamba nti yali agenze mu kyalo okulaba ku bazadde be abaali abalwadde nti era yagezaako okumukubira essimu alabe oba yatuuse bulungi wabula nga essimu teyitamu kuba yali amutadde mu blacklist.
Wabula oluvannyuma lw’ebbanga omugenzi yaweereza bbawe obubaka ku whatsapp ne voice notes nga amugamba nti yali agenze kukyeyo. Nyakana agamba nti yafuna essimu okuva mu bantu batamanyi mu mwezi gwa September nga bamugamba nti mukazi we yali mulwadde muyi nnyo era nga yali akomezebwawo mu Uganda ya nalowooza nti byali byakusaaga kuba mukazi we yali tanaweza mwezi nga agenze ebweru.
Agamba nti oluvannyuma yafuna essimu endala okuva eri omuntu gwatamanyi nga amutegeeza nga mukyala we bweyatabuse obwongo bwatyo n’abuuka okuva ku mwaliiro ogw’okutaano ogwakalina naggwa wansi nafa.
Nyakana yasalawo okuwaaba omusango ku Poliisi nga ayagala okuzuula kkampuni ki eyatwala mukazi we e Jordon era oluvannyuma nekizuulwa nti Nakiyimba yatwalibwa kkampuni ya Al Saudi Agency e Jordon nga bayita e Rwanda mu mwezi gwa August. Ebbaluwa z’eddwaliro ziraga nti omugenzi yafa nga 4-September-2018 era omulambo ggwe nekumozebwawo mu ggwanga nga 24-September-2018 era omulambo gwe negutwalibwa mu ggwanika okwekebejebwa era nekizuulwa nti ensigo ze zombi zaali zigiddwamu ekiyinza okuba nga kyekyamuviira okufa. Nakiyimba yaleka abaana 5.
Omuntu yenna alina okubuusabuusa ku muntu ayagala okumutwala ebweru genda ku Ministry of Gender, Labour and Social Development oba kuba ku ssimu nnamba 041-4 345002.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply