Breaking
News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 200 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Lydia Wanyoto bayombedde ettaka ne muto we

July 12, 2022 · Mubiru Ali

Ssentebe w’abakyala mu Kibiina kya National Resistance Movement – NRM, Hon: Lydia Wanyoto Mutende yakwatiddwa ku katambi ngawanyisiganya ebisongovu ne muto we Paul Wanyoto, Munnamateeka ng’entabwe eva ku ttaka lya Famire erisangibwa mu Lumumba Cell, Nabweya Ward mu Kibuga Mbale.

Olutalo wakati wa Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Hon: Lydia Wanyoto Mutende ne muto we Munnamateeka Paul Wanyoto lwavudde ku Lydia Wanyoto kulagira basajja kutandika kukuba mabaati kukola kikomera okuliraana n’ennyumba ya muto we eyakiwakanyizza nga agamba kiteeka ebyokwerinda bya maka ge mu matigga era bweyakiwakanyizza nebatandika okuyomba.