Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 283 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM
News

Tutya n’okuyita ku nguudo mu Kampala – Hon. Ssekikubo

March 13, 2024 · Mubiru Ali

Waliwo Ababaka Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM abamu abasazeewo okwegatta ku Babaka b’Oludda oluvuganya, okusaba Sipiika okuyita Ababaka okuvaayo mu luwummula batuule nabakulembera Palamenti okusobola okwekeneenya ensonga y’obuli bw’enguzi wamu n’okukozesa obubi offiisi ebibunye omutimbagano. Omubaka akiikirira Lwemiyaga County Theodore Ssekikubo ategeezezza nti bangi tebakyasobola kutambula ku nguudo za Kampala babeera bekwese nga nebwebaba batambudde balina okukusibwa. Ono agamba nti kati n’okuyitibwa Omubaka wa Palamenti kiswaza, kuba tewali avaayo kwanukula. Ono agamba nti ekifaananyi kya Palamenti eri Bannayuganda kyayonoonese.