JOSE CHAMELEONE OKUBA NGA ASABIRIZA KATI KISWAZA NNYO

 
Dj Jacob Omutuuze ; “Ku myaka n’obumanyirivu Jose Chameleone byalina kati yandibadde alina Record Label eyiye mpozzi n’ekibiina kyobwannakyewa ekiyamba abayinike. Ku myaka emitono Diamond Platnumz gyamaze mu kuyimba bino byonna abirina.
Kyanaku nti Chameleone, ku myaka gyamaze nga ali waggulu mu kisaawe kyokuyimba kati asabiriza busabiriza olwaleero. Kino kiri kiti olwokuba Chameleone ne banne ssente bazimalira mu bakazi so nga ye Diamond yakola enteekateeka ya ssente ze zafuna mu kuyimba.
Bwaba wamukisa nafuna ssente okuva ewa Gen. Saleh, muwa amagezi nti azikozese bulungi okutegekera obukadde bwe.”

Ba blogger baagala kulonda Pulezidenti waabwe

Ne ba Blogger batandiseewo ekibiina ekibakulembera ekya Uganda Bloggers Association kati balwanira bukulembeze. Kaye WisdomNational Unity Platform – NUP eyambalagana ne Katto Ashburg owa National Resistance Movement – NRM eyakakubwa nawangulwamu amannyo ne Isma Olaxes nampawengwa. Linnya ki etuufu eriyinza okutuukira ku kibiina kino singa obadde wakukiwa linnya?

ABAYIMBI LWAKI MWEMALAMU? – BOBI WINE

Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine yavuddeyo ku bayimbi abaddukira ewa Gen. Salim Saleh; “Bwendabye bayimbi bannange nga bafukamiridde muto wa Nakyemalira Gen. Salim Saleh okulebeeta obuswazzi nenzijukira olugero lwa Joseph Starlin nakyemalira wa Soviet mu kyasa 19.
‘Olumu Starlin yakongola enkoko ennamu ebyooya okusobola okuwa abagoberezi be essomo.
Enkoko eno eyali effa obulumi ngeyiwa omusaayi yagiwummuza wansi naye bweyatandika okumansira empeke z’obulo enkoko yatandikirawo omugoberera buli wadda.
Wano Starlin weyasinziira nagamba nti, MULABYE BWEKIRI EKYANGU OKUFUGA ABATUMBAVU! Bajja kugoberera nga berabidde obulumi bwobayisaamu kasita obeera ng’obakasukira obukunkumukwa obufisse'”
 

ASHBURG KATTO BAMUKUBYE NEBAMUGGYAMU AMANNYO

Asburg Katto mu kiro ekikeesezza olwaleero naye yalozezza ku bukambwe bwa Uganda Police Force bweyanadde atambula mubudde bwa curfew; “Wadde neyogeddeko nze ani, bagenze mu maaso okunkuba nebanziggyamu n’amannyo, naye nga lwaki nvaamu amannyo mu mikono gya Gavumenti nekitongole kyekimu kyenabadde nva okukiikirira ku TV? Eno yengeri Poliisi gyemwasazeewo okunsasula? Mwebale nnyo.”

NRM MULI BABI NNYO MWANSUULA – HASSAN NDUGGA

Omuyimbi Hassan Nduga ug avuddeyo nakukulumira National Resistance Movement – NRM nga agamba nti babi nnyo bebamulabya enaku gyayitamu enaku nga balowoozesa abantu nti bamuwa omudidi gwa ssente ekitali kituufu. Akiikidde NRM ensingo nti yamukyayisa Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine eyali atera okumuwa ku kamere. Obubaka abuyisizza mu luyimba agamba nti bwerutakole nga ayimba olulala. https://youtu.be/bJ-qs-4OIBw

Mukyala wa Eddie Mutwe yazadde omwana mulenzi

Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Muganda wange @Eddie Mutwe mukyala we yamuzaalidde omwana omulenzi mu kiro ekiyise. Maama n’omwana bali mu mbeera nnungi. Twebaza Mukama Katonda. Wadde nga Eddie akyali mu kkomera e Kitalya, nsuubira amawulire gano ganamugumya mu mutima negamwongera amaanyi.”