Gavumenti eragidde kkampuni z’amasimu okuzzaako layini zonna ezaasalibwako
Gavumenti eragidde kkampuni z’amasimu okuzzaako layini zonna ez’amasimu ezaali zisaliddwako. Kino kidiridde Pulezidenti Museveni okwongezaayo ebbanga lya myezi essatu.
Bino byonna byavudde mu nsisinkano ye n’ababaka ba NRM e Ntebe . Nsalesale omupya ow’okusalako layini ajja kubaawo mu August 30 era nga yagambye nti ku luno tejja kubaawo kwongezaayo kulala.
Ye Nampala wa w’ababaka mu Palamenti abali ku ludda lwa Gavumenti , Ruth Nankabirwa mu kwogerako eri Bannamawulire yagambye nti mu kujjako layini mwalimu ensobi nnyingi okuli n’okujjako abo abali bandiisizza layini zaabwe.

