97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Eyo alipoota alabaika Hon. Kadaga yeyagiwandiika – Namuganza

Minisita omubeezi ow’ebyettaka era nga yakiikirira Bukono County mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Persis Namuganza, awakanyizza alipoota y’Akakiiko ka Palamenti akuvunaanyizibwa ku mpisa eyamusingisizza omusango nga egamba nti yayisa mu Speaker Rebecca Alitwala Kadaga amaaso nga amutemagulako ebigambo.

Namuganza agamba nti alipoota eno ejjuddemu kyekuubira era nga kiyinzika okuba nga Speaker Kadaga yeyagiwandiika yekennyini nagiwa abakakiiko bagiteekeko emikono. Ono agamba simwetegefu kugondera kibonerezo kyonna ekyateeseddwa nti kyekiba kimuweebwa. Ono agamba nti olutalo lukyayinda.

 

About Mubiru Ali

Leave a Reply