Eyakirizza okutta Kagezi bamusibye emyaka 35
Kisekka Daniel Kiwanuka, omu kubakwatibwa olwokutta DPP Joan Kagezi Namazzi yatuuse kunzikiriziganya ne offiisi ya DPP okukiriza omusango ogwokutta Kagezi nasaba aweebwe ekibonerezo ekitonotono. Oludda oluwaabi lwakirizza okumuggyako emisango egyobutujju nabamuggulako gwabutemu.
Kkooti etegeezeddwea nti Kisekka yaleeta emmundu 5 ekika kya AK47 zeyabba bweyali adduka mu Ggye lya UPDF e Gulu nasanga banne mu Kampala gyeyasanga banne; John Kibuuka, John Masajjage ne Nasur Abudallah Mugonole nebatandika okukola ogwokubba.
Mu 2008, Kisekka yakwatibwa bweyali agezaako okubba natwalibwa mu Kkooti y’amaggye wabula natoloka mu nkambi ya Military e Makindye naddukira e Kayunga natandika okukwokya amanda.
Wabula oluvannyuma Kibuuka yabaleetera omulimu ogwaliko obukadde bwa ddoola 200 nga gwali gwakutta Joan Kagezi Namazzi wabula nebabasasulako buli omu emitwalo 50 okutta omuntu gwebalowooza nti yali mulamuzi eyali yeyingiza mu nsonga z’Abasiraamu.
Kisekka ategeezezza Kkooti nti yeyaziggula emmundu eyakozesebwa nagiwa Kibuuka John eyakuba Kagezi essasi mu bulago.
Mukugezaako okubuzaabuza omusango Kisekka yatwala banne ewa Olewo Joseph omusawo w’ekinnansi e Kayunga okusiba omusango nebamusasula emitwalo 20 era kyabakolera okumala emyaka 8 okutuusa mu August 2023 Kisekka bwebamukwatira mu bubbi e Luweero oluvannyuma nakiriza omusango gwokutta Kagezi nekizuulwa nti ne banne 3 baali basibe mu makomera agenjawulo ku misango gyobubbi.
Kisekka aweereddwa ekibonerezo kyakusibwa emayaka 35 wabula kkooti eragidde batooleko omwaka 1 nenanku 13 zamaze ku alimanda.
Bya Chrisitina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe

