97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Ensonga enkulu ezayogeddwa omukulembeze w’eggwanga

Ensonga enkulu ezabadde mu kwogera kwa Pulezidenti okw’omulundi ogwe 16 ku kirwadde kya #COVID-19;

▪️June 4 Bbaasi ne Takisi zakuddamu okukola wabula nga zitikka kitundu ky’abasabaze berina okutikka nga ate buli omu alina agirimu alina okwambala mask.

▪️ Gavumenti yasazeewo okwongezaayo okuggulawo amasomero naddala eri abayizi abalina ebigezo ebyakamalirizo okumala omwezi mulamba.

▪️Amasinzizo gonna gakusigala nga maggale.

▪️Enkungaana ez’ebyobufuzi, eddiini n’emikolo gy’obuwangwa gyonna gikyayimiridde.

▪️Shopping malls zakuggulawo okutandika nga 4-June wabula nga bakugoberera ‘social distancing’.

▪️Boda-bodas ne Tuku-tuku zakusigala nga zitambuza migugu so ssi bantu.

▪️Okugaba mask eri Bannayuganda kwakutandika nga 10-June-2020.

▪️Okugaba emmere kwakugenda mu maaso mu Disitulikiti y’e Wakiso nokuddamu okuwa Bannakampala abafuna edda.

Kino kikulu: Ebiragiro ebirala byonna bisagaddewo nga bwebibadde omuli ne ‘curfew’.

About Mubiru Ali

Leave a Reply