Ennyonyi kanzitwale e Kenya – Mike Mukula
Capt. Mike Mukula: Nsazeewo okutwala ennyonyi zange zonna e Kenya oluvannyuma lwokulemesebwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’ennyonyi mu ggwanga ekya Civil Aviation Authority okumpa olukusa olunzikiriza okubuusa ennyonyi mu ggwanga (Air Operator’s Certificate (AOC) kyokka bwe nagenze e Kenya bangipadde mu week emu yokka. Ennyonyi zibaddewo okumala emyaka 3 nga zirabirirwa bulungi era nga zisasula ebisale bya Parking.


