Breaking
News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza…. News: Liirino eggwanga lyabantu ngomusajja okuwasaayo atwala mitwe gya nte ne bamuwa omuwala singa gimulema okwanjula kuba kugaanyi.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 199 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM
News

Ssaabaminisita vva mu kuloota – Hon. Mpuuga

June 14, 2023 · Mubiru Ali
Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister, aweze akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, Hon. Mathias Mpuuga Nsamba, obutaddamu kuyingira mu Ddwaliro lya Gavumenti lyonna ng’ataalaga ebitundu by’Eggwanga eby’enjawulo okulambula emirimu gya Gavumenti n’obuweereza.
Nabbanja ekiragiro kino akiweeredde ku Ddwaliro lya Gavumenti ery’e Kawolo, Mpuuga gyeyali sabbiiti ewedde abasawo ne bamutegeeza nga bwebaali bagenda okwediima olw’obutafuna musaala gwabwe nga kati giweze emyezi esatu.
Wabula Mpuuga amwanukudde namutegeeza nti ave mu kuloota kuba talina buyinza bumugaana kukola mulimu gulambikiddwa mu Ssemateeka nti alina okugukola.