Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 599 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Omusuubuzi wa motoka mu Kampala ku kibanda kya…

February 27, 2026 · Radio Simba

Omusuubuzi wa motoka mu Kampala ku kibanda kya Pine Muhammad eyasingisibwa emisango okwali: okuwamba omuntu, obubbi wamu nobutemu mu 2019 naweebwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 40 ayimbuddwa. Ono yavunaanibwa okuwamba era natta kkasitoma we Betty Donah Katusabe, wabula yomu kubafunye ekisonyiwo kya Pulezidenti. Ssebuwuufu yali yajulira ku kibonerezo kyemyaka 40 era mu 2025 naweebwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 18 oluvannyuma lwa Kkooti Ejjulirirwamu okuddamu okwekeneenya obujulizi netegeeza nti ekibonerezo ekyali kimuweereddwa kyali kikambwe nnyo.
#ffemmwemmweffe

Radio Simba News