97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

enkyuukakyuuka za kuyamba buganda – kattikiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga yatangaazizza ku nkyuukakyuuka mu cabinet ya Ssaabasajja Kabaka.
Bweyabadde ayogerako eri Bannamawulire, Katikkiro yagambye nti ensonga enkulu ey’enkyuukakyuuka ya kunnyikiza buweereza n’okukomya enkola ey’obwannakyewa ku mutendera gwa Baminisita.
Katikkiro yagambye mu myaka 25 nga Ssaabasajja ali ku Namulondo, Obwakabaka butuuse ku buwanguzi obulabwako nga buno bweyolekedde mu Baminisita ne ba Katikkiro ab’enjawulo. Naye oluvannyuma lw’emyaka 25 kyalabibwa nga kyetaaga okwongera embavu mu buweereza, okunnyikiza emirimu newankubadde nga obwannakyewa bwe butuusizza Buganda wano weeri , wabula ekiseera kituuse bukome ku mutendera gwa Baminisita beweerereyo ddala okukola emirimu gya Ssaabasajja Kabaka olwo Buganda esobole okudda ku ntikko.

Mu ngeri yeemu, Katikkiro yasambaze engambo ezibadde ziyitingana nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyakyalira Kabaka nebakkaanya ku nkyuukakyuuka zino, mbu era agenda kubeera mumyuka wa mukulembeze w’eggwanga , wabula sibwekiri kubanga Beene yasiimye nze Katikkiro mu nteekateeka eno empya. Ekirala nti Pulezidenti siyalondera Ssaabasajja Kabaka Baminisita be, era ye mukulu wa ggwanga ate Kabaka gwe mutwe gw’Obwakabaka bwa Buganda n’olwekyo abakulu baba balina okusisinkana, era Kabaka asisinkana abakulembeze bangi omuli n’ab’omu mawanga g’ebweru.
Yagasseeko nti abakulu bombi bwebasisinkana bingi ebisobola okutambula mu ngeri eyamba eggwanga. N’olwekyo ensisinkano ya Pulezodenti Museveni ne Kabaka teriimu bya bufuzi, ne Kabaka okukyuusa mu kkabineeti ye tekiriimu bya bufuzi, nsonga za kunyweza n’okunnyikiza obuweereza.

About Mubiru Ali

Leave a Reply