BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Banvunaana ki nga bampa n’ekirabo – Kayihura

Eyaliko omuduumizi wa Poliisi y’eggwanga Gen. Edward Kale Kayihura avuddeyo nayanukula Gavumenti ya America eyavuddeyo olunalu lw’eggulo netegeeza nga bwetadde envumbo ku by’obuggagga bwe ssaako ne ‘Account’ ze zalina mu Amerika zonna nga bamulanga obuli bw’enguzi, obukenuzi wamu n’okutulugunya abantu mu kiseera weyabeerera IGP.

Kayihura agamba nti bano bagenderera kwonoona linnya lye kuba yakola nnyo okulwanyisa obumenyi bw’amateeka mu ggwanga nti era ekitongole kya Amerika ekya FBI kyakolera wamu n’ekitongole kya Poliisi ekya FBI wamu naye era nga batuuka n’okumusiima nga bamuwa ekirabo.

Kayihura agamba nti kumpi buli musango ogw’amaanyi bakolera wamu ne FBI okugeza nga okuttibwa kwa Joan Kagezi, okwa AIGP Andrew Felix Kaweesi, wamu n’ogwa bbomu ogwa 2010.

Ku nvumbo ku ye n’abennyumba ye okugaanibwa okugenda mu Amerika avuddeyo nategeeza nti ekyo tekirina kyekimukosaamu kuba tebalina kirowoozo kyakugenda mu Amerika, nti era talinayo byabuggagga wadde akawunti wabweru wa ggwanga. Gen Kayihura 62, yawumuzibwa Pulezidenti Museveni mu March 2018 nakwatibwa mu June, navunaanibwa nga kati yateebwa ku kakalu ka Kkooti y’amaggye.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply