Endabika yange kati sigirinaako buzibu eneyagaze era ngenderere – Minisita Frank K Tumwebaze
🗳️ Endabika yange kati sigirinaako buzibu eneyagaze era ngenderere – Minisita Frank K Tumwebaze
Minisita avunaanyizibwa ku byobulimi, obulunzi n’obuvubi Frank Tumwebaze Kagiigi avuddeyo nayannukula ababadde bamujjonkera ku ndabike ye kati: “Abasomesa ku byobulamu, abakugu mu byendwadde, endiisa n’abasawo mwenna, ndi mweralikirivu ddala era nammwe musaanye mweralikirire. Lwaki? Olutalo lwokulwanyisa endwadde ezitasiigibwa si lwangu kuwangula. Esinga y’eddwadde y’omugejjo abantu kyebalowooza nti kwekubeera omulamu so nga bwokogga oba n’obeera omutono balowooza oli mulwadde era kituuza enkiiko omuluka.
Ekituufu kiri nti okubeera namasavu amatono kitegeeza obulamu, ekyo kizibu okutegeera? Okukogga kweralikiriza singa oba tokugenderedde, tekunyonyolekeka oba nga kuzze lwandya mbi oba olwobulwadde obwolukonvuba. Naye okukogga okugenderere nga kuyita mu kukyuusa mu ndya oba okwekozza okuyita mu kusala amasavu ngokendeeza ku biwoomerera, okukola dduyiro ennyo nebyolwa kikolwa kyetusaanye okujaguza.
Omuntu yenna ateg

