ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala kizimbye sitoowa empya
Akulira ekitongole ekikola ogw’okubunyisa wamu n’okutereka eddagala mu Ggwanga Moses Kamabaale avuddeyo nasaba abantu okwewala endwadde okusinga okwagala eddagala .
Okwogera bino yabadde mu kulambula omulimu ogugenda mu maaso ogw’okuzimba etterekero ly’eddagala epya erisangibwa e Kajjansi era ng’omulimu guno gugenda kuwemmenta obuwumbi 70 nga wetunaatuukira mu June nga nguwedde

